Tamale Mirundi alagudde ku ky’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021. Mirundi agamba nti wadde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yesimbyewo, ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni alina okuddamu okuwangula obukulembeze. Mungeri y’emu alagudde nti Museveni singa addamu okuwangula obwa Pulezidenti, abavubuka balina okukola effujjo kuba […]
Tamale Mirundi alagudde ku ky’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.
Mirundi agamba nti wadde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yesimbyewo, ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni alina okuddamu okuwangula obukulembeze.
Mungeri y’emu alagudde nti Museveni singa addamu okuwangula obwa Pulezidenti, abavubuka balina okukola effujjo kuba bangi bakooye obuyinza bwa NRM, bagala enkyukakyuka.
Agamba nti mu ggwanga lyona abavubuka balina okukola effujjo omuli okwokya ebipiira era Gavumenti erina okukyetegekera.
Okubyogera, yabadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘ONE ON ONE” with Tamale Mirundi.