ESSANNYU! Abakwatibwa ku by’okutta Kaweesi bafunye omukisa okuddamu okulya ku kibala kya Adam, kkooti eragidde bayimbulwe

©GALAXY

Kkooti enkulu ewozesa bakalintalo ekirizza abantu omunaana (8) abavunaanibwa ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesa okweyimirirwa oluvanyuma lw’emyeka ebbiri (2) ku limanda mu kkomera e Luzira okuva mu 2017. Lydia Mugambe okusalawo abantu abo okweyimirirwa, akyesigamizza ku kusalawo kw’omulamuzi wa kkooti enkulu Margaret Oguli Oumo omwaka oguwedde ogwa 2018 nti abantu […]


Kkooti enkulu ewozesa bakalintalo ekirizza abantu omunaana (8) abavunaanibwa ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesa okweyimirirwa oluvanyuma lw’emyeka ebbiri (2) ku limanda mu kkomera e Luzira okuva mu 2017.

Lydia Mugambe okusalawo abantu abo okweyimirirwa, akyesigamizza ku kusalawo kw’omulamuzi wa kkooti enkulu Margaret Oguli Oumo omwaka oguwedde ogwa 2018 nti abantu abo baatulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo n’okuwangala ku limanda emyaka 2 nga tebawozesebwa ate baleese abantu okubeeyimirira abalina ebisanyizo.

Abagambibwa okutta Kaweesi mu kkooti
Abagambibwa okutta Kaweesi mu kkooti

Omulamuzi Mugambe agamba nti okweyimirirwa kigenda kubayambako okufuna obujanjabi okuva mu b’enganda era buli omu asabiddwa obukadde 150 ezitali za buliwo n’ababeyimiridde obukadde 250 era buli omu ezitali za buliwo.

Abagambibwa okutta Kaweesi mu kkooti
Abagambibwa okutta Kaweesi mu kkooti

Mungeri y’emu omulamuzi alagidde abayimbuddwa nti balina okweyanjula mu kkooti nga 19 buli mwezi, balagiddwa okuwa kkooti paasipooti zzaabwe, tewali akirizibwa kufuluma ggwanga okuggyako nga bafunye olukusa n’ebirala.

Munnamateeka wa bavunaanibwa Ladislaus Rwakafuuzi agambye nti abantu be, bazziddwayo mu kkomera e Luzira okutuusa ku Lwokutaano basobole okutuukiriza obukwakkulizo obubateekeddwako.

Kaweesi yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro ne dereeva we Constable Godfrey Wambewa wamu n’omukuumi we Corporal Kenneth Erau.