KASEBBO! Sheebah akutudde MC Kats omutima ku nsonga za Fille, abotodde ebyama era alangiridde ekiriwo

©GALAXY

Kyaddaki Omuyimbi Sheebah Kalungi avuddeyo ku bigambibwa nti ayinza okulemesa muyimbi munne eyali mukyala wa MC Kats, Fille Mutoni okwegata ku kibiina kyabwe ekya Team No Sleep (TNS). Mu kiseera kino Fille talina kibiina wadde manejja oluvanyuma lw’okwawukana ne bba MC Kats eyali manejja we era kigambibwa nti essaawa yonna ayinza okwegatta ku kibiina kya […]


Kyaddaki Omuyimbi Sheebah Kalungi avuddeyo ku bigambibwa nti ayinza okulemesa muyimbi munne eyali mukyala wa MC Kats, Fille Mutoni okwegata ku kibiina kyabwe ekya Team No Sleep (TNS).

Mu kiseera kino Fille talina kibiina wadde manejja oluvanyuma lw’okwawukana ne bba MC Kats eyali manejja we era kigambibwa nti essaawa yonna ayinza okwegatta ku kibiina kya Team No Sleep wansi wa manejja Jeff Kiwa.

Sheebah agambye nti, “Nze sirina buzibu nkozeeko ne Fille, nze sirina buzibu n’omuntu yenna ayagala okwegata ku TNS, ffe it’s the Business ng’ogyeko nti Music waliwo competition eri Health, so Team No Sleep bwetufuna abayimbi bataano (5) abawala nga baakabi, tuba tukoze Business eyaakabi so nze siyinza nakulowooza nti gundi bwagya agenda kunzigyawo, twetaaga abayimbi okukola ku ssente so kiba kitukolera, it’s Business“.

Amawulire gabadde gayitingana nti Sheebah ayinza okulemesa Fille okwegata ku TNS kuba ayinza okumumenyawo mu kisaawe ky’okuyimba.

Ebigambo bya Sheebah kabonero akalaga nti MC Kats talina mukisa gwonna okuddamu okuba manejja wa Fille wadde okuddamu okusaba ku vuvuzera ye kuba asemberedde okugitwalira musajja munne Jeff mu TNS.