AWO KALE! Kyaddaki Don Zella ayogedde lwaki tayinza kwerabira Big Eye, yiino ensonga y’omu kisenge esinga okumuluma

©GALAXY

Mu nsi y’omukwano, tewali muntu yenna ng’akola bibi byerere, mulina okubaamu ebirungi, ekiwangaza abaagalana. Mu kiseera kino omuyimbi Big Eye n’eyali mukyala we Nalongo Sheila Don Zella buli omu ayogerera munne ebisongovu ekintu eky’obulabe kuba balina omwana. Big Eye agamba nti Don Zella yali mukyala mulungi nnyo mu ndabika kyokka talina wadde empisa, awemula nnyo, […]


Mu nsi y’omukwano, tewali muntu yenna ng’akola bibi byerere, mulina okubaamu ebirungi, ekiwangaza abaagalana.

Mu kiseera kino omuyimbi Big Eye n’eyali mukyala we Nalongo Sheila Don Zella buli omu ayogerera munne ebisongovu ekintu eky’obulabe kuba balina omwana.

Big Eye agamba nti Don Zella yali mukyala mulungi nnyo mu ndabika kyokka talina wadde empisa, awemula nnyo, aweebuula abazadde, tagambwako era zeezimu ku nsonga lwaki tebayinza kuding’ana.

Wabula ne Don Zella agamba nti Big Eye musajja mwenzi nnyo, talina wadde 100, talina mpisa, mpale biraka n’ensonga endala.

Don Zella agamba nti wadde tewali mukisa gwonna kuding’ana ne Big Eye, yali musajja mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge, alina ‘Smart Wire’ etuuka mu buli kasonda, awangalira mu kisaawe ate musajja ayagala ennyo akaboozi.

Ebigambo bya Don Zella kabonero akalaga nti, Big Eye alina omukisa okufuna buli mukazi yenna gwe yetaaga olwa waaya ye etapondooka.