Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Joan Ketty Acaa awadde ekitongole ekya Poliisi omwezi gumu (1) okuleeta Patrick Kashaija amanyiddwa nga Pato mu kkooti awerennembe n’omusango gw’okuwaamba n’okutta omukyala Susan Magara myaka 28. Pato ali mu ggwanga erya South Africa, kigambibwa nti alina ky’amanyi ku kutemulwa Magara era ali ku musango gw’obutemu. Magara yawambibwa nga […]
Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Joan Ketty Acaa awadde ekitongole ekya Poliisi omwezi gumu (1) okuleeta Patrick Kashaija amanyiddwa nga Pato mu kkooti awerennembe n’omusango gw’okuwaamba n’okutta omukyala Susan Magara myaka 28.
Pato ali mu ggwanga erya South Africa, kigambibwa nti alina ky’amanyi ku kutemulwa Magara era ali ku musango gw’obutemu.
Magara yawambibwa nga 7,Febuary, 2018, bwe yali ku luguudo lwa Kabakanjagala e Mengo mu Kampala ng’adda eka e Lungujja mu ggoombolola y’e Rubaga era omulambo gwe gwazuulibwa e Kigo mu disitulikiti y’e Wakiso nga wayise ebbanga lya sabiti 3.
Mu kkooti, omuwaabi wa Gavumenti Patricia Cingatho yasabye omulamuzi Ketty omwezi gumu basobole okukomyawo Pato okuva mu ggwanga erya South Afrika.
Munnamateeka wa Pato, Evans Ochieng agamba nti omuntu we mwetegefu nnyo okujja mu kkooti okutandiika okuwoza.
Pato avunaanibwa ne banne omuli Ismail Bukenya, Musa Buvumbo, Hajara Nakandi, Mahad Kasalita, Imam w’omuzikiti gwa Usafi mu Kisenyi, Abubaker Kyewolwa, Hassan Kato Miiro, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa ne Muzamiru Ssali.
Omulamuzi alangiridde nga 23, April, 2019, omusango okuddamu.