TUBIKOOYE! Abawagizi batabukidde Kenzo lwa Rema, bamulangidde ebiswaza ku nsonga z’obufumbo bwe

©GALAXY

Abawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo bamutabukidde ku nsonga za mukyala we Rema Namakula era afunyemu eky’okuyiga. Kenzo atadde ekifaananyi kye ku mukutu ogwa Face Book ng’ayambuddemu essaati nagamba nti, “Sinze atayagala gym ndi wakugitandika baaba other wise guno omusana esati eyokya hohoho”. Ebigambo ebyo, abawagizi be bagamba nti Kenzo alemeddwa okuzza ku mwana, okukuba Rema embaga […]


Abawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo bamutabukidde ku nsonga za mukyala we Rema Namakula era afunyemu eky’okuyiga.

Kenzo atadde ekifaananyi kye ku mukutu ogwa Face Book ng’ayambuddemu essaati nagamba nti, “Sinze atayagala gym ndi wakugitandika baaba other wise guno omusana esati eyokya hohoho”.

Ebigambo ebyo, abawagizi be bagamba nti Kenzo alemeddwa okuzza ku mwana, okukuba Rema embaga n’okumukuba empeta wabula okwebuzabuza nti alina ebivvulu mu mawanga agenjawulo omuli Cameroon.