BAMBI! Nsirikidde ebbanga naye mbikooye, Weasel Manizo avuddemu omwasi mu bukambwe, abotodde ekyama ekibadde ku mutima gwe

©GALAXY

Omuyimbi Weasel Manizo owa Goodlyfe atabukidde bannayuganda  abasukkiridde okumwogerera amafuukuule nti y’omu ku bayimbi abagudde mu kisaawe ky’okuyimba oluvanyuma lwa mukwano gwe Mowzey Radio okufa mu February wa 2018. Weasel bwe yabadde ku mukolo gwa Zzina Awards ku Theatre LaBonita mu Kampala sabiti ewedde ku Lwokutaano, yagambye nti waliwo abantu abalindiridde okugwa kwe era nga […]


Omuyimbi Weasel Manizo owa Goodlyfe atabukidde bannayuganda  abasukkiridde okumwogerera amafuukuule nti y’omu ku bayimbi abagudde mu kisaawe ky’okuyimba oluvanyuma lwa mukwano gwe Mowzey Radio okufa mu February wa 2018.

Weasel bwe yabadde ku mukolo gwa Zzina Awards ku Theatre LaBonita mu Kampala sabiti ewedde ku Lwokutaano, yagambye nti waliwo abantu abalindiridde okugwa kwe era nga bakikolerera mu ngeri ezenjawulo.

Agamba nti wadde abamu ku bantu baagala agwe, baswadde era banuune ku vvu, “all those People who wish to see me down, there is no down for Weasel Manizo, sky is the limit”.

Goodlyfe yawangudde Award ya “Zzina Legend Award” oluvanyuma lw’emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba.