Munnamateeka Male Mabirizi atutte mu kkooti enkulu omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ku nsonga z’ebyempuliziganya mu ggwanga Tamale Mirundi olw’okumulebula, ekintu ekimenya amateeka. Mabirizi agamba nti Tamale Mirundi bwe yabadde ku Pearl FM mu Kampala ku Lwomukaaga, yagambye nti minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kutesa yamukozesa okutwala Gavumenti mu kkooti okulemesa entekateeka z’okuzimba eddwaaliro ly’e […]
Munnamateeka Male Mabirizi atutte mu kkooti enkulu omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ku nsonga z’ebyempuliziganya mu ggwanga Tamale Mirundi olw’okumulebula, ekintu ekimenya amateeka.
Mabirizi agamba nti Tamale Mirundi bwe yabadde ku Pearl FM mu Kampala ku Lwomukaaga, yagambye nti minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kutesa yamukozesa okutwala Gavumenti mu kkooti okulemesa entekateeka z’okuzimba eddwaaliro ly’e Lubowa.
Mungeri y’emu, Mabirizi agamba nti ebigambo bya Tamale Mirundi bikuma mu bantu omuliro n’okumwonoonera erinnya.

Mu kkooti, Mibirizi era agamba nti emu ku nsonga lwaki sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga mulwadde, Mirundi agamba nti yafuna amawulire nti balonze akabondo ka NRM mu Buganda (Buganda NRM Caucus) e Kyankwanzi ng’alina okutya nti Kuteesa ayinza okutwala ekifo kye.
Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, Mabirizi yatwala ssaabawolereza wa gavumenti mu mbuga ng’awakanya ekya palamenti okukkiriza gavumenti ewole omugagga FINASI ensimbi azimbe eddwaliro e Lubowa ku lw’e Ntebe.
Mabirizi ayagala kkooti esazeemu endagaano eno ng’agamba nti yakolebwa mu bukyamu kyokka mu byonna olunwe alusimbye mu sipiika wa palamenti Kadaga, gw’agamba nti yawabya olukiiko lw’eggwanga olukulu, ekintu ekimenya amateeka