Bya Nalule Aminah Angella Vivienne Chebet mukyala w’omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa SK Mbuga azziddwayo ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 10, April, 2019. Enkya ya leero, Vivienne alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Pamela Lamunu owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi etuula e Kololo kyokka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu David Bisamunyu, bategezeza kkooti nti bakyanoonyereza […]
Bya Nalule Aminah
Angella Vivienne Chebet mukyala w’omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa SK Mbuga azziddwayo ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 10, April, 2019.
Enkya ya leero, Vivienne alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Pamela Lamunu owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi etuula e Kololo kyokka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu David Bisamunyu, bategezeza kkooti nti bakyanoonyereza ne basaba okubongera obudde.
Omulamuzi Lamunu akiriza okusaba kw’oludda oluwaabi era Vivienne aziddwayo ku limanda gy’abadde okuva nga 27, February, 2019 ku misango gy’okutambuza ssente mu ngeri emenya amateeka n’okuggya obukadde obusukka 400 mu ngeri ey’olukujjukujju ku muzungu eyali bba Omungereza Stein Heinsoo.
Omungereza ono ssente yazibba mu kkampuni ya Einar Matsson AB.
N’olunnaku olwaleero, omulamuzi Margret Tibulya ali mu musango gwa Vivienne tabaddewo.