Bannayuganda batabukidde Minisita w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi ku ky’okuyimiriza omuyimbi Ssenyonjo Patrick amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 okuyimba mu bivvulu. Minisita Nakiwala agamba nti kimenya amateeka omwana omuto wansi w’emyaka 18 okuyimba mu bivvulu n’ekigendererwa ky’okufuna ssente. Nakiwala agamba nti Sseemateeka wa Uganda, omuntu yenna akozesa omwana omuto okufuna ssente, amenya amateeka era […]
Bannayuganda batabukidde Minisita w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi ku ky’okuyimiriza omuyimbi Ssenyonjo Patrick amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 okuyimba mu bivvulu.

Minisita Nakiwala agamba nti kimenya amateeka omwana omuto wansi w’emyaka 18 okuyimba mu bivvulu n’ekigendererwa ky’okufuna ssente.
Nakiwala agamba nti Sseemateeka wa Uganda, omuntu yenna akozesa omwana omuto okufuna ssente, amenya amateeka era Fresh Kid alina okusigala mu ssomero, okuyimba ne bayizi banne.

Wabula abantu abenjawulo bajjukiza Minisita Nakiwala nti mu Uganda mubaddemu abaana abato bangi mu kisaawe ky’okuyimba n’okulaga talenti zzaabwe omuli abaana ba Ghetto Kids, Baby Gloria n’abalala.
Mungeri y’emu bagambye nti Fresh Kid abadde mu mbeera mbi mu bitundu bye Luweero ku myaka 7 nga Minisita Nakiwala asirise kyokka omwana oluvuddeyo okunoonya akasente, Minisita avuddeyo okumulemesa nga yekwasa amateeka ku baana.
Bannayuganda bawadde Minisita Nakiwala amagezi okuyamba Fresh Kid okutumbula talenti ye okusinga okuvaayo okugisaanyawo.