BITABUSE! Gundi olina okuva ku bukulembeze mu bwangu, amaggye gekyusirizza Pulezidenti, bamulagidde alekulire

©GALAXY

Olukiiko olukulembera amaggye mu ggwanga erya Algeria lulagidde omukulembeze w’eggwanga Abdelaziz Bouteflika okulekulira mu bwangu. Lt Gen Ahmed Gaed Salah bw’abadde ku Ttiivi agambye nti mu kiseera kino, Bouteflika takyasobola  kutambuza ggwanga era balina okufuna omukulembeze omulala nga bayita mu mateeka. Bouteflika myaka 82 yakirizza okuva mu buyinza n’obutaddamu kwesimbawo ekisanja eky’okutaano (5) oluvanyuma lwa […]


Olukiiko olukulembera amaggye mu ggwanga erya Algeria lulagidde omukulembeze w’eggwanga Abdelaziz Bouteflika okulekulira mu bwangu.

Lt Gen Ahmed Gaed Salah bw’abadde ku Ttiivi agambye nti mu kiseera kino, Bouteflika takyasobola  kutambuza ggwanga era balina okufuna omukulembeze omulala nga bayita mu mateeka.

Abdelaziz Bouteflika
Abdelaziz Bouteflika

Bouteflika myaka 82 yakirizza okuva mu buyinza n’obutaddamu kwesimbawo ekisanja eky’okutaano (5) oluvanyuma lwa bannansi okwekalakaasa okumala ennaku eziwera.

Bouteflika yafuna obulwadde bw’okusanyalala mu 2013 era mu kiseera kino atambulira mu kagaali.

Wabula Lt Gen Salah agamba nti balina okutebenkeza eggwanga bannansi okuva ku nguudo mu okwekalakaasa okudda ku mirimu, era y’emu ku nsonga lwaki Bouteflika balina okwanguwa okumuggya mu buyinza.