Gavt ezudde obujjulizi n’ebizibiti ku by’okutta Kirumira, abakwatibwa basindikiddwa mu kkooti enkulu, eby’okunyumirwa akaboozi babyerabire

©GALAXY

Abakwattibwa ku misango gy’okutemula eyali adduumira Poliisi y’e Buyende Afande Muhhamed Mirumira enkya ya leero basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Wakiso Noah Ssajabi era bazzeemu okubasomera emisango gy’obutemu egibavunaanibwa. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ramurah Ddamba bategeezeza omulamuzi Ssajabi nti bafundikidde okunoonyereza kwabwe era abavunaanibwa balina okutandiika okwewozaako mu kkooti enkulu. Mungeri y’emu […]


Abakwattibwa ku misango gy’okutemula eyali adduumira Poliisi y’e Buyende Afande Muhhamed Mirumira enkya ya leero basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Wakiso Noah Ssajabi era bazzeemu okubasomera emisango gy’obutemu egibavunaanibwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ramurah Ddamba bategeezeza omulamuzi Ssajabi nti bafundikidde okunoonyereza kwabwe era abavunaanibwa balina okutandiika okwewozaako mu kkooti enkulu.

Mungeri y’emu Ddamba agambye nti balina ebiragiro okuva eri Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) abavunaanibwa okusindikibwa mu kkooti enkulu.

Kalungi ne Mwebe nga batwalibwa ku Limanda e Kigo
Kalungi ne Mwebe nga batwalibwa ku Limanda e Kigo

Abasibe okuli Abubakar Kalungi, Hamuza Mwebe n’abakyaliira ku nsiko kigambibwa nga, 8, September, 2018 bakuba Kirumira amasasi agamuttirawo ne mukwano gwe Resty Nalinnya Mbabazi e Bulenga ku luguudo lwa Kampala  – Mityana.

Omulamuzi Ssajabi azzeemu okusindiika Kalungi ne Mwebe ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa kkooti enkulu ng’etaddewo olunnaku okutandiika okwewozaako.