Kyaddaki NRM eyogedde amazima mu kulonda kwa 2021, Bobi Wine ne Besigye omusajja akibagambye, aba People Power balidde obuwuka

©GALAXY

Kyaddaki bannakibiina kya National Resistance Movement (NRM) bavuddemu omwasi nti mu kulonda kwa 2021, omuntu gwe balina okutunulira ennyo ye Dr Kizza Besigye owa Forum for Democratic Change (FDC). Okusinzira ku mwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, Besigye alina amaanyi kuba alina emirandira mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okusiinga ku mubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert […]


Kyaddaki bannakibiina kya National Resistance Movement (NRM) bavuddemu omwasi nti mu kulonda kwa 2021, omuntu gwe balina okutunulira ennyo ye Dr Kizza Besigye owa Forum for Democratic Change (FDC).

Ofwono Opondo
Ofwono Opondo

Okusinzira ku mwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, Besigye alina amaanyi kuba alina emirandira mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okusiinga ku mubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Agamba nti Bobi Wine mu kiseera kino muyaga gwa byabufuzi era 2021 tebasuubira kufuna buzibu bwonna wadde okuwa omuntu waaabwe Yoweri Kaguta Museveni obuzibu bwonna.

Ofwono bw’abadde ku NBS TV agambye nti wadde Besigye avuganyizza ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi ena (4), akyalina amaanyi era mu kulonda kwa 2021 gwe batunuulidde okubawa obuzibu okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti.

Mungeri y’emu agambye nti wadde Bobi Wine alina ekisinde ekya People Power, alina okukimanya nti buli kibiina kyabufuzi kirina obuyinza bw’abantu era y’emu ku nsonga lwaki NRM ekyali mu buyinza.