Ffe twamusse naye mutusonyiwe, Poliisi ekkirizza okutta Ssebulime mu bugenderevu, abasirikale 4 bakwattiddwa okubitebya

©GALAXY

Kyaddaki Poliisi yetonze ku by’okutta Ronald Ssebulime myaka 39 ng’ono agambibwa okuba nga yali agoberera Minisita omubeezi owa Tekinologiya ow’ekikugu Aidah Erios Nantaba. Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga abasirikale baawa abaddumira amawulire amafu ku mbeera eyaliwo. Enanga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku CPS mu Kampala agambye nti okutta Ssebulime lyali ttemu […]


Kyaddaki Poliisi yetonze ku by’okutta Ronald Ssebulime myaka 39 ng’ono agambibwa okuba nga yali agoberera Minisita omubeezi owa Tekinologiya ow’ekikugu Aidah Erios Nantaba.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga abasirikale baawa abaddumira amawulire amafu ku mbeera eyaliwo.

Omugenzi Sebulime ne pikipiki kwe yabadde
Omugenzi Sebulime ne pikipiki kwe yabadde

Enanga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku CPS mu Kampala agambye nti okutta Ssebulime lyali ttemu era abasirikale 4 bakwattiddwa Poliisi nga baakuvunaanwa gwa butemu, okwekobaana ne bakweka munaabwe eyali amaze okutta Ssebulime n’okuwa amawulire amafu, ekintu ekimenya amateeka.

Enanga era agambye nti famire ya Ssebulime yaakuliyirirwa oluvannyuma lw’ekitongole ky’amateeka n’eddembe ly’obuntu mu poliisi nga kimaze okukola alipoota.

Fred Enanga ne Minisita Nantaba
Fred Enanga ne Minisita Nantaba

Sebulime yakubiddwa amasasi e Nagojje ku Ssande nga kigambibwa nti yabadde avuga pikipiki kwe yabadde n’omutemu eyabadde n’emmundu ne bagezaako okutemula Nantaba.
Poliisi egamba nti Sebulime yabadde agenda ku ssomero okukyalira abaana era mu nsawo ye, mwasangiddwamu eby’okunywa n’eby’okulya.

Ekiwandiiko kya Poliisi