Ssenga ayogedde ku mukwano gwa Rema ne Kenzo, awagidde Lydia Jazmine okwediza omusajja okuzukusa emisuwa gya waaya

©GALAXY

Kyaddaki Ssenga Kawomera avuddeyo ku nsonga z’omuyimbi Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo era awadde bannayuganda amagezi ku nsonga z’obufumbo. Kigambibwa Rema ne bba Kenzo balina obutakaanya mu laavu yabwe era mbu Rema yaviira Kenzo mu maka e Seguku. Wabula Ssenga Kawomera agamba nti, ” ekisooka Rema ne Kenzo bonna bayimbi ate balina amaanyi mu […]


Kyaddaki Ssenga Kawomera avuddeyo ku nsonga z’omuyimbi Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo era awadde bannayuganda amagezi ku nsonga z’obufumbo.

Kigambibwa Rema ne bba Kenzo balina obutakaanya mu laavu yabwe era mbu Rema yaviira Kenzo mu maka e Seguku.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti, ” ekisooka Rema ne Kenzo bonna bayimbi ate balina amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba, kiyinza okuba ekizibu, Rema okutuula awaka okufumbira bba ng’alina okubeera mu situdiyo okuyiiyiza abawagizi be ennyimba. Ekirala buli mukyala yenna yetaaga obudde mu mukwano, Kenzo ayinza okuba talina budde bwa Rema, era kiyinza okuvaako obuzibu wadde alina ssente kuba ssente tezimala byonna, nze Rema mwagala kuba anyimbira bulungi naye ayinza okuba ng’alina empisa embi, nga Kenzo yazikoowa oba nga bba alina empisa mbi. Ekimu ku kisinga okusanyawo laavu mu baagalana bwenzi, tulina okwebuuza Kenzo atuukiridde oba Rema. Jjukira nti nti bonna bayimbi, naye beewa ekitiibwa mu maka oba buli omu akola mirimu ggye ate ensonga z’amaka tebalina kuziyingizaamu bya kuyimba, balina kubikomya mu situdiyo, naye kikolebwa. Kenzo ne Rema buli omu yetaaga munne kyokka n’ebigambo okuva mu bantu bisukkiridde okubatabangula“.

Lydia Jazmine
Lydia Jazmine

Ate ku bigambibwa nti Kenzo ali mu laavu n’omuyimbi Lydia Jazmine, Ssenga Kawomera agambye nti, “Jazmine muwala muto, alabika bulungi nnyo ate ayimba bulungi, tewali bukakafu nti ye ne Kenzo baagalana, naye awali omukka tewabula muliro, Kenzo alina eddembe lye okwagala Jazmine oba omukyala omulala yenna kuba musajja, ate Jazmine ayinza okuba asinga Rema ebirungo, nze nga Ssenga sikirinaako mutawaana Kenzo kwagala Jazmine bwe kiba nga kimuwa essannyu mu bulamu bwe“.