Aba famire y’omugenzi Ronald Ssebulime baagala obuwumbi 9 n’obukadde 900 (9.9B) olwa Poliisi okutta omuntu waabwe. Ssebulime yakubiddwa amasasi ku Ssande nga 24, March, 2019 oluvannyuma lw’okuteeberezebwa nti yabadde n’ekigendererwa eky’okutemula minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya era omubaka omukyala owe Kayunga Ida Erios Nantaba. Wabula famire nga bakulembeddwamu munnamateeka Muwada Nkunyingi, bawandikidde ssaabawolereza wa gavumenti, Minisita Nantaba, […]
Aba famire y’omugenzi Ronald Ssebulime baagala obuwumbi 9 n’obukadde 900 (9.9B) olwa Poliisi okutta omuntu waabwe.
Ssebulime yakubiddwa amasasi ku Ssande nga 24, March, 2019 oluvannyuma lw’okuteeberezebwa nti yabadde n’ekigendererwa eky’okutemula minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya era omubaka omukyala owe Kayunga Ida Erios Nantaba.
Wabula famire nga bakulembeddwamu munnamateeka Muwada Nkunyingi, bawandikidde ssaabawolereza wa gavumenti, Minisita Nantaba, omusirikale Corporal David Ssali, Constables Ronald Opira ne Ronald Baganza nga baagala 9.9B mu nnaku 5 zokka oba okubatwala mu kkooti.
Okusinzira ku kiwandiiko, Ssebulime abadde alina obunaanyizibwa omuli okulabirira abazadde, abaana be bana (4) ate bonna bakyasoma nga betaaga ssente mu bwangu.
Ssebulime yaziikiddwa ku Lwokusatu, e Mubende era okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, yabadde talina musango gwonna.
Mu kiseera kino, abasirikale basatu (3) Corporal David Ssali, Police Constables Ronald Opira ne Ronald Baganza bali mabega wa mitayimbwa ku misango gy’obutemu.