Poliisi y’e Nalumunye mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abantu babiri (2) ku by’okubba waaya ezateekebwa ku luguudo lwa Entebbe Express Highway okuyambako mu kutangira obubenje. Abakwattiddwa kuliko Sunday Peter ne Lugemwa Ismai era basaangiddwa ne kilo ezisukka mu 50. Abakwate bano bakuumibwa ku poliisi y’e Nalumuye ku misango gy’obubbi. Poliisi egamba nti okukwatibwa kwa Peter […]
Poliisi y’e Nalumunye mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abantu babiri (2) ku by’okubba waaya ezateekebwa ku luguudo lwa Entebbe Express Highway okuyambako mu kutangira obubenje.
Abakwattiddwa kuliko Sunday Peter ne Lugemwa Ismai era basaangiddwa ne kilo ezisukka mu 50.
Abakwate bano bakuumibwa ku poliisi y’e Nalumuye ku misango gy’obubbi.

Poliisi egamba nti okukwatibwa kwa Peter ne Lugemwa kigenda kubayamba okukwata abalala n’okwongera amaaanyi mu kunoonyereza kwabwe.