Chameleone alaze Daniella kye bayita laavu, amusuubiza ensi n’eggulu, abatamwagaliza munuune ku vvu!

©GALAXY

Omuyimbi Jose Chameleone agumizza omukyala Daniella Atim Mayanja ku laavu yaabwe. Chameleone asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti engeri yokka y’okuba ng’atuukiridde, kwagala nnyo mukyala we, famire ye ne mikwano gye, ” The best way to be perfect is loving you, your family, friends and blinding yourself to negativity. One life the […]


Omuyimbi Jose Chameleone agumizza omukyala Daniella Atim Mayanja ku laavu yaabwe.
Chameleone asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agambye nti engeri yokka y’okuba ng’atuukiridde, kwagala nnyo mukyala we, famire ye ne mikwano gye, ” The best way to be perfect is loving you, your family, friends and blinding yourself to negativity. One life the father gives, one life we have to live“.

Ebigambo bya Chameleone, kabonero akalaga nti Daniella ye mukyala yekka ali mu birowoozo bye era yekka yamusumulula emisuwa gy’omukwano.

Chameleone ne famire bali mu ggwanga erya America era obulamu kati abulya mu sitayiro kuba yagula amaka era mukwano wakati we n’omukyala Daniella gweyongera buli lunnaku.