Mu nsi y’omukwano, abasajja baagala nnyo omukyala alabika obulungi mu ndabika era mu mbeera eyo, abakyala balina okwekolako buli lunnaku okwekuuma nga balabika bulungi. Mu Uganda, bangi babadde bebuuza lwaki Diamond Platnumz yasuulawo Zari Hassan ku lwa Tanasha Donna Okech eta nga mukyala alabika bulungi ku myaka gye 38 wabula Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga […]
Mu nsi y’omukwano, abasajja baagala nnyo omukyala alabika obulungi mu ndabika era mu mbeera eyo, abakyala balina okwekolako buli lunnaku okwekuuma nga balabika bulungi.
Mu Uganda, bangi babadde bebuuza lwaki Diamond Platnumz yasuulawo Zari Hassan ku lwa Tanasha Donna Okech eta nga mukyala alabika bulungi ku myaka gye 38 wabula Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, ayanukudde ekibuuzo ekyo.

Ssenga Kawomera agamba nti “Zari yali mukyala mukulu nnyo ku Platnumz, Zari alina emyaka 38 ate Platnumz 29, omulenzi yali muto ng’akyalina okugaaza abawala abenjawulo, Zari yali mukyala eyazaalako ng’ali abaana basatu (3) ab’omugenzi Ivan Semwanga ate Platnumz yali muvubuka nga talina wadde omwana, kale wadde yamuzaalira, ebirowoozo byali tebisobola kukwatagana, mu kiseera kino alina Tanasha muwala muto, naye alabika bulungi, ali mu myaka 25 – 30, tazalangako, kale Platnumz yafuna omukisa okufuna omuwala omuto, ali mu myaka gye“.

Ssenga Kawomera era agamba nti, “Zari ne Tanasha bonna balabika bulungi kyokka Platnumz yalina okwesonyiwa Zari okufuna omuwala omuto, atalina bizibu nnyo kuba omukyala yenna nga Zari alina abaana 5, olina okuba n’ebizibu by’abaana wadde olina ku ssente kuba omwana ayinza okulwala. Wadde ensonga z’omu kisenge tezoogerwa, oyinza okusaanga nga Tanasha asinga Zari ebirungo by’omu kisenge wadde muwala muto ng’alina sukaali okusinga ku Zari kale byonna biyinza okusindikiriza omusajja okwesonyiwa omukyala yenna wadde alabika bulungi“.