Omubaka wa Kasambya County mu Palamenti Mbwatekamwa Gaffa asuubiza okuwagira omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 mu kuyimba kwe. Mbwatekamwa bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu Palamenti enkya ya leero agambye nti wakuteeka ssente mu luyimba lwa Fresh Kid, olunaasinga okukwata abantu omubabiro. Mungeri y’emu agambye nti Fresh Kid ku myaka gye, balina […]
Omubaka wa Kasambya County mu Palamenti Mbwatekamwa Gaffa asuubiza okuwagira omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 mu kuyimba kwe.
Mbwatekamwa bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu Palamenti enkya ya leero agambye nti wakuteeka ssente mu luyimba lwa Fresh Kid, olunaasinga okukwata abantu omubabiro.
Mungeri y’emu agambye nti Fresh Kid ku myaka gye, balina kumulambika engeri gy’alina okuyimba n’ebifo by’alina okuyimbira okusinga okumulemesa.

Omubaka Mbwatekamwa era agambye nti Minisita avunaanyizibwa ku abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi alina obuzibu okulemesa omwana okutumbula talenti ye ey’okuyimba era yetaaga kusomesebwa engeri gy’alina okutambuza emirimu.
Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde Minisita Nakiwala yayimiriza Fresh Kid okuyimba kuba ku myaka gye, alina kuba mu ssomero era abantu bonna abamutwala okuyimba, yabalabula okukikomya kuba ayinza okubasiba.