Kkooti e Nakawa eyongezaayo okutuusa ku Lwokutaano nga 5, May, 2019 omusango oguvunaanibwa munnansi wa Rwanda Ishimye Moses Lutale. Okusinzira ku ludda oluwaabi Lutale ali ku misango gy’okuyingira mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka n’okusigalamu, 26th October 2018, era okuyingira yakozesa ensala y’e Katuna. Okwatibwa, ebitongole ebikuuma eddembe byamukwatira okumpi ne woofiisi ya CMI Bugolobi. […]
Kkooti e Nakawa eyongezaayo okutuusa ku Lwokutaano nga 5, May, 2019 omusango oguvunaanibwa munnansi wa Rwanda Ishimye Moses Lutale.
Okusinzira ku ludda oluwaabi Lutale ali ku misango gy’okuyingira mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka n’okusigalamu, 26th October 2018, era okuyingira yakozesa ensala y’e Katuna.
Okwatibwa, ebitongole ebikuuma eddembe byamukwatira okumpi ne woofiisi ya CMI Bugolobi.
Omwezi oguwedde, ogw’okusatu nga 11, yayimbulwa kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ez’obuliwo era enkya ya leero, abadde akomyewo mu kkooti okweyanjula ku misango gy’amukwasa n’okutukiriza ekiragiro ky’omulamuzi Fiona Shiela Angura okudda mu kkooti olwaleero.
Wabula, ategeezeddwa nti omulamuzi ali musango gwe, taliwo ali mu luwumula era alagiddwa okudda mu kkooti sabiti eno ku Lwokutaano.