Minisita Nakiwala yetondedde Fresh Kid, bubuno obukadde bwa ssente bwamuwadde n’amusuubiza ne fiizi okutuuka P7

©GALAXY

Minisita avunaanyibwa ku by’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi enkya ya leero asisinkanye omwana Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa ng’omuyimbi Fresh Kid myaka 7 mu offisi ye mu Kampala. Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, Minisita Nakiwala yayimiriza Fresh Kid okuyimba mu bivvulu kuba ku myaka gye, alina kuba mu ssomero. Wabula mu nsisinkano ebaddewo olunnaku olwaleero, Minisita Nakiwala gwe […]


Minisita avunaanyibwa ku by’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi enkya ya leero asisinkanye omwana Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa ng’omuyimbi Fresh Kid myaka 7 mu offisi ye mu Kampala.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, Minisita Nakiwala yayimiriza Fresh Kid okuyimba mu bivvulu kuba ku myaka gye, alina kuba mu ssomero.

Wabula mu nsisinkano ebaddewo olunnaku olwaleero, Minisita Nakiwala gwe mulundi gwe ogusookedde ddala okusisinkana Fresh Kid maaso ku maaso.

Betty Nambooze Bakireke
Betty Nambooze Bakireke

Okusinzira ku mubaka w’ekibuga Mukono Betty Nambooze Bakireke, Minisita Nakiwala yetondedde abakulira Fresh Kid mu kisaawe ky’okuyimba era mbu amuwadde obukadde 5 okufulumya oluyimba Baambi n’amusuubiza n’okumusasulira fiizi okutuuka mu kibiina eky’omusanvu (P7).

Ku mukutu ogwa Face Book, Nambooze agambye nti, “Minister Nakiwala apologises to Fresh Committee, gives him 5Millions to record the Baambi song plus promising to pay his school up to P7. Thanks Nnyabo,congs Fresh Kid“.