Ssemaka Mwebe Enock Bakaki asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 15, April, 2019 ku misango gy’okutisatiisa okutta kalisoliso wa gavumenti (IGG) Irene Mulyagonya. Mwebe myaka 38 asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Glady’s Kamasanyu owa Buganda Road era asomeddwa emisango ebbiri (2) egy’okutisatiisa okutta omuntu. Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 22, September, 2018, Mwebe […]
Ssemaka Mwebe Enock Bakaki asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 15, April, 2019 ku misango gy’okutisatiisa okutta kalisoliso wa gavumenti (IGG) Irene Mulyagonya.
Mwebe myaka 38 asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Glady’s Kamasanyu owa Buganda Road era asomeddwa emisango ebbiri (2) egy’okutisatiisa okutta omuntu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 22, September, 2018, Mwebe nga mutuuze we Najeera, Wakiso, yasindikira Kalisoliso Mulyagonya obubaka nga yeyambisa ‘Email’, nga bw’agenda okumutta nga yeyambisa amasasi.
Abajjulizi abalumiriza Mwebe, kuliko Kalisoliso yennyini Irene Mulyagonya, omuyambi we ku nsonga za tekinologye Joseph Bamwidhukire ssaako n’omusirikale eyakulembeddemu okunoonyereza Emmanuel Mbonimpa.
Omulamuzi agambye nti Mwebe alina okwewozaako, kwekulangirira 15, April, 2019 omusango okuddamu.