Cindy azzeemu okuvuluga Sheebah ku siteegi, amulabudde olina okufukamira kuba oli ddole

©GALAXY

Omuyimbi Sanyu Cindy azzeemu okuvuluga Sheebah Kalungi nti y’omu ku bayimbi ba ‘ddole’ gwe bakolera buli kimu mu kisaawe ky’okuyimba. Cindy bwe yabadde ku kivvulu ekimu, yagambye nti omuntu yenna nga bamuwandikira ennyimba, okuzitambuza ku laadiyo, Ttiivi ne DJ, okumwabaza, okumusibisa enviri nga bamukolera buli kimu mu bulamu bwe, abeera ‘ddole’. Mungeri y’emu agambye nti […]


Omuyimbi Sanyu Cindy azzeemu okuvuluga Sheebah Kalungi nti y’omu ku bayimbi ba ‘ddole’ gwe bakolera buli kimu mu kisaawe ky’okuyimba.

Cindy bwe yabadde ku kivvulu ekimu, yagambye nti omuntu yenna nga bamuwandikira ennyimba, okuzitambuza ku laadiyo, Ttiivi ne DJ, okumwabaza, okumusibisa enviri nga bamukolera buli kimu mu bulamu bwe, abeera ‘ddole’.
Mungeri y’emu agambye nti Sheebah alina okukiriza nti kibulamu mu kuyimba n’okusingira ddala ‘LIVE’, ku siteegi akirize okumuyigiriza kuba tamannyi.

Cindy era agambye nti Sheebah alina okukiriza nti amusinga emyaka mu kisaawe ky’okuyimba era singa amusanga, alina okufukamira okuwa abantu abakulu ekitiibwa.

Olutalo lw’ebigambo wakati wa Sheebah ne Cindy kabonero akalaga nti tewali mukisa abayimbi bombi okudda ku siteegi emu mu kivvulu kimu okudda mu ‘battle’ wakati waabwe kuba tewali awa munne kitiibwa.