Cindy alaze nti Sheebah ne banne bakyali ‘Dummy’, ye muyimbi yekka omukyala alondeddwa mu Uganda, omusajja abalala tabamanyi

©GALAXY

Omuyimbi Cindy Sanyu agudde mu bintu, ye muyimbi yekka omukyala alondeddwa mu Uganda okukola kolabo n’omuyimbi Awilo Longomba okuva mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo (DR Congo). Olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, Longomba amanyikiddwa nnyo mu nnyimba za Soukous (Lingala) alina ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala era yatuuse mu Uganda olunnaku olw’eggulo ku […]


Omuyimbi Cindy Sanyu agudde mu bintu, ye muyimbi yekka omukyala alondeddwa mu Uganda okukola kolabo n’omuyimbi Awilo Longomba okuva mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo (DR Congo).

Olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, Longomba amanyikiddwa nnyo mu nnyimba za Soukous (Lingala) alina ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala era yatuuse mu Uganda olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.

Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire, yabuuziddwa oba alina ekirowoozo ky’okuyimba ne munnayuganda yenna (kolabo) era mu kwanukula yagambye nti alina abayimbi bangi era Cindy ye mukyala yekka gwe yawadde omukisa.

Awilo Longomba okwogera ku Cindy, kabonero akalaga nti ddala mukyala muyimbi era ensi emutegeera era y’emu ku nsonga lwaki azalawa abamu ku bayimbi omuli Sheebah Kalungi kuba muyimbi wa CD, tasobola kuyimba ‘LIVE’.

Cindy agamba nti abayimbi nga Sheebah ba ‘Dummy’ kuba babakolera buli kimu ku kisaawe ky’okuyimba omuli okubawandikira ennyimba, okuzitambuza mu bantu, okubambaza n’ebintu ebirala nga byonna bikolebwa manejja.