Mu nsi, omusajja wadde alina ssente, omukyala mu maka kintu kikulu nnyo era y’emu ku nsonga lwaki buli muntu yegoomba obufumbo obulungi. Mu mbeera eyo, Eddy Kenzo y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba era y’omu ku bantu abalina keyekoleddewo kuba alina amaka e Seguku, ennyumba z’abapangisa, alina emmotoka ez’ebbeeyi n’ebintu ebirala. Wabula wadde alina ku […]
Mu nsi, omusajja wadde alina ssente, omukyala mu maka kintu kikulu nnyo era y’emu ku nsonga lwaki buli muntu yegoomba obufumbo obulungi.
Mu mbeera eyo, Eddy Kenzo y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba era y’omu ku bantu abalina keyekoleddewo kuba alina amaka e Seguku, ennyumba z’abapangisa, alina emmotoka ez’ebbeeyi n’ebintu ebirala.
Wabula wadde alina ku ssente, amawulire gabadde gayitingana nti obufumbo bwe wakati we n’omukyala Rema Namakula buyuuga era mbu Rema yanobye mu maka naddukira e Namugongo.
Buli muntu yenna alina eddembe okulya ebintu ebimuwoomera era mu mbeera eyo, Kenzo asobodde okuteeka ekifaananyi ku mukutu ogwa Instagram ng’ali mu kulya ekikomando (chapati n’ebijanjalo) n’omunaanaansi nagaamba nti, “Njagala nyo akakomando n’omunanasi reminds alot #ghetto“.
Wabula abamu ku bagoberezi be bakiwakanyiza era bagambye nti Rema okumuviira y’emu ku nsonga lwaki alina kulya kikomando kuba tewali ayinza kumufumbira.