Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine myaka 37 atabukidde abantu ssekinomu abagamba nti akalulu tekayinza kuggyako Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Bobi Wine agamba nti waliwo abakulembeze abagamba nti akalulu tekayinza kuggya Museveni mu buyinza ate balemeddwa okuwa bannayuganda kye balina okukola okufuna enkyukakyuka. Mungeri y’emu agambye nti, “tolina […]
Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine myaka 37 atabukidde abantu ssekinomu abagamba nti akalulu tekayinza kuggyako Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Bobi Wine agamba nti waliwo abakulembeze abagamba nti akalulu tekayinza kuggya Museveni mu buyinza ate balemeddwa okuwa bannayuganda kye balina okukola okufuna enkyukakyuka.
Mungeri y’emu agambye nti, “tolina kwogera ku dimokulase kuba wesimbyewo emirundi ena (4) kyokka ku mulundi gw’okutaano (5) ogamba tekisoboka, ffe tugamba kisoboka”.
Bobi Wine agamba nti, “For a leader to say a vote can never oust Museveni without offering a solution is disappointing… Don’t talk about democracy and stand four times and on the fifth time you say it doesn’t work, we believe it works”.

Ebigambo bya Bobi Wine, kabonero akalaga nti abadde alumbagana Dr Kizza Besigye myaka 62 owa Forum for Democratic Change (FDC) kuba mu Uganda, ye musajja yekka eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga emirundu ena (4) mu 2001, 2006, 2011 ne 2016.
Bobi Wine yalangirira dda nti mu kulonda kwa 2021 alina okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino era olunnaku olwaleero, gwe mulundi gwe ogusookedde ddala okwanukula Dr Besigye mu lwatu.
Bobi Wine abadde ku Hotel Africana mu Kampala, ebibiina okuli Democratic Party (DP), People Development Party (PDP), Social Democratic Party (SDP) we bikunganidde okusayininga endagano, 2021 okwegata okuleeta omuntu omu ku ntebbe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.