Omugagga Jack Pemba asigadde mu maziga, bawannyondo ba kkooti bwe bazinzeeko amakaage e Buziga ne babowa ebintu eby’omu nnyumba ebisinga obungi lwa kulemererwa okusasula banja lwa bukadde obusukka mu 800. Kigambibwa ssente yazewola ku mugagga Godfrey Kirumira era bawannyondo ba kkooti bakulembeddwaamu Ssempiira Kalyango okuva mu Kalyango Associates. Kalyango agamba nti yabadde alina ekiragiro kya […]
Omugagga Jack Pemba asigadde mu maziga, bawannyondo ba kkooti bwe bazinzeeko amakaage e Buziga ne babowa ebintu eby’omu nnyumba ebisinga obungi lwa kulemererwa okusasula banja lwa bukadde obusukka mu 800.
Kigambibwa ssente yazewola ku mugagga Godfrey Kirumira era bawannyondo ba kkooti bakulembeddwaamu Ssempiira Kalyango okuva mu Kalyango Associates.

Kalyango agamba nti yabadde alina ekiragiro kya kkooti okubowa ebintu bya Pemba bya mitwalo gya ddoola ena (4) kw’ezo emitwalo 22 gy’abangibwa.
Okusinzira ku kiragiro kya kkooti, bawannyondo babadde balina okubowa ebintu omuli ffiriigi, entebe za sofa, ttivvi, leediyo n’emmotoka okuli Audi enjeru ne BMW X6 nga zonna ziriko amannya ge naye kyababuseeko bwe baagenze okutuuka mu makaage, ng’ebintu ebisinga obungi omuli emmotoka nga yabiggyeemu.
Ebimu byasangiddwa mu nnyumba kwabaddeko entebe za sofa, ttivvi n’ebintu ebirala.

Mutabani w’omugagga Godfrey Kirumira, ayitiibwa Gideon Kirumira agamba nti balina okunoonya Pemba yonna gye yekwese, okusasula ssente zonna ezibanjibwa kuba mu kiseera kino takyakwata ssimu zzaabwe.