LABA LAAVU! Rema akutudde abantu omutima abatamwagaliza, alaze lwaki Kenzo ye musajja yekka ali ku mutima gwe

©GALAXY

Omuyimbi Rema Namakula alaze nti tewali mbeera yonna eyinza kumwawula ne bba Eddy Kenzo wadde ebigambo bizze biyitingana. Rema okulaga nti ye Kenzo tebalina buzibu, amawulire getufunye galaga nti alina vidiyo gy’akwatidde mu maka gaabwe e Seguku. Vidiyo n’oluyimba bisubirwa okufuluma essaawa yonna era bangi ku bannayuganda bagyesunga. Ebigambibwa nti Rema yanoba e Seguku agamba […]


Omuyimbi Rema Namakula alaze nti tewali mbeera yonna eyinza kumwawula ne bba Eddy Kenzo wadde ebigambo bizze biyitingana.

Rema okulaga nti ye Kenzo tebalina buzibu, amawulire getufunye galaga nti alina vidiyo gy’akwatidde mu maka gaabwe e Seguku.

Vidiyo n’oluyimba bisubirwa okufuluma essaawa yonna era bangi ku bannayuganda bagyesunga.

Ebigambibwa nti Rema yanoba e Seguku agamba nti,”ensonga z’amaka zitwalibwa nga zakyama era ensonga zaange ne Kenzo nja kuzoogerako mu kiseera ekituufu“.

Kenzo ne Rema
Kenzo ne Rema

Mu kiseera kino, Rema y’omu ku bakyala abategeera obulungi okwanukula ku nsonga z’amaka.

Wadde ebigambo byogerwa, Rema okuzaalira Kenzo omwana, kabonero akalaga nti ye musajja yekka ali ku mutima gwe era ali mu birowoozo bye.