WEBALE MUKWANO! Kyaddaki Fille awadde MC Kats essuubi okuddamu okugikwatako, bubuno obubaka bw’amusindikidde

©GALAXY

Kyaddaki Fille Mutoni myaka 27 akiriza nti naye muntu era asobya nga tewali nsonga yonna lwaki naye tasonyiwa bantu balala abamusobya n’okwenenya eri Katonda. Fille agamba nti naye muntu era asobya era emirundi mingi bamusonyiye abantu abenjawulo. Ku ky’okusonyiwa eyali bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats, Fille agambye nti talina buzibu bwonna na MC […]


Kyaddaki Fille Mutoni myaka 27 akiriza nti naye muntu era asobya nga tewali nsonga yonna lwaki naye tasonyiwa bantu balala abamusobya n’okwenenya eri Katonda.

Fille agamba nti naye muntu era asobya era emirundi mingi bamusonyiye abantu abenjawulo.

Ku ky’okusonyiwa eyali bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats, Fille agambye nti talina buzibu bwonna na MC Kats kuba ye taata w’omwana we era tekirivaawo.

Ate ku ky’okudda mu bufumbo bwa MC Kats, Fille agaanye okukyogerako era agambye nti, “ebya MC Kats tubireke kuba ssaagala kubyogerako, nsaba busabi tubyesonyiwe“.

Fille ne MC Kats baafuna obutakaanya ng’abafumbo oluvannyuma ne bawukana ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018 era tewali kabonero kalaga nti Fille ayinza okuddiramu MC Kats mu kiseera kino.

Fille okugamba nti naye muntu era asonyiwa, kiwa MC Kats essuubi nti ayinza okwetonda ne bamusonyiwa, naafuna omukisa okuddamu okugikwatako.