Enduulu esaanikidde abadigize, Sheebah Kalungi ne Roden Y Kabako bwe balinye ku siteegi okukuba omuziki mu kifo ekimu ekisanyukirwamu. Sheebah ne Kabako babadde bali ku luyimba lwabwe olwa Sitani Tonkema kyokka mu kukuba omuziki, Sheebah yatandiise okukema Kabako olw’enyambala ye, era bangi ku badigize basigadde mu nseko. Mu vidiyo, Kabako yatidde okukwata ku Sheebah era […]
Enduulu esaanikidde abadigize, Sheebah Kalungi ne Roden Y Kabako bwe balinye ku siteegi okukuba omuziki mu kifo ekimu ekisanyukirwamu.
Sheebah ne Kabako babadde bali ku luyimba lwabwe olwa Sitani Tonkema kyokka mu kukuba omuziki, Sheebah yatandiise okukema Kabako olw’enyambala ye, era bangi ku badigize basigadde mu nseko.
Mu vidiyo, Kabako yatidde okukwata ku Sheebah era wakati mu bantu okusakaanya yadduse za mbwa okuva ku siteegi.