Poliisi mu disitulikiti y’e Bukomansimbi ekutte ssemaka ku by’okutta mukwano gwe, oluvanyuma lw’okumulangira obusezi. Katongole Charles atemera mu gy’obukulu 40 yakwattiddwa ku by’okutta Sserugo George William myaka 30. Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka Lameck Kigozi agambye nti ekiro ekikeseza olwaleero, Katongole ne Sserugo babadde mu bbaala emu ku kyalo Kasambya mu ggoombolola y’e Kibinge, […]
Poliisi mu disitulikiti y’e Bukomansimbi ekutte ssemaka ku by’okutta mukwano gwe, oluvanyuma lw’okumulangira obusezi.
Katongole Charles atemera mu gy’obukulu 40 yakwattiddwa ku by’okutta Sserugo George William myaka 30.
Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka Lameck Kigozi agambye nti ekiro ekikeseza olwaleero, Katongole ne Sserugo babadde mu bbaala emu ku kyalo Kasambya mu ggoombolola y’e Kibinge, baafunye obutakaanya era amangu ddala Sserugo yalangidde Katongole obusezi.
Lameck agamba nti Katongole yanyiize nafuluma ebbaala era bonna abadigize babadde bamanyi agenze.
Oluvanyuma, Sserugo yafulumye ebbaala okudda awaka kyokka Katongole yabadde mu kkubo ng’amulinze, era yamukutte obulago namutuga mu bakambwe okutuusa lwe yafudde.
Lameck agamba nti Sserugo teyasobodde kwerwanako kuba yabadde atamidde nnyo.
Enkya ya leero, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Bukomansi Health Centre IV okwongera okwekebejjebwa era Katongole akirizza okutta Sserugo ku Poliisi.
Lameck agamba nti essaawa yonna Katongole bamutwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.