KIWEDDE! Kyaddaki Minisita Nakiwala afunidde Fresh Kid essomero ery’akabi nga sereebu, amutwala mu kisulo

©GALAXY

Kyaddaki Gavumenti efunidde omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 essomero ly’ekisulo, okusobola okutambuza emisomo. Okusinzira ku Minisita w’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi Fresh Kid, bagenda kumutwala mu ssomero lya St. Savio Junior School – Kisubi mu kisulo ng’abayizi abalala. Minisita Nakiwala agamba nti mu Uganda St. Savio Junior School lye limu ssomero […]


Kyaddaki Gavumenti efunidde omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 essomero ly’ekisulo, okusobola okutambuza emisomo.
Okusinzira ku Minisita w’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi Fresh Kid, bagenda kumutwala mu ssomero lya St. Savio Junior School – Kisubi mu kisulo ng’abayizi abalala.
Minisita Nakiwala agamba nti mu Uganda St. Savio Junior School lye limu ssomero erisinga ebbeeyi begumbulidde okutendeka abayizi eddiini, empisa era alina essuubi nti ligenda kuyamba nnyo Fresh Kid.
Nakiwala agamba nti Fresh Kid wadde alina talenti, alina kuyimba mu luwummula kuba akyali mwana muto yetaaga okulungamizibwa obulungi.

Mu kiseera kino Fresh Kid alina ennyimba bbiri (2) ezimanyiddwa ennyo abantu omuli Banteka, Bambi, ezimufudde ow’enjawulo mu kisaawe ky’okuyimba era kati sereebu ayogerwako abantu abenjawulo.