KIWEDDE! Poliisi ekutte 5 ku by’okubba abantu ku mudumu gw’emmundu, bagibuulidde ebyama, babano abakulu abagudde mu kitimba

©GALAXY

Poliisi mu bitundu bye Kiira ekutte abantu bataano (5) ku by’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka era kiteeberezebwa nti babadde bagyeyambisa okubba abatuuze n’okubatta mu ggoombolola y’e Budondo mu disitulikiti y’e Jinja. Abakwatte kuliko Sharif Ngobi, Rodgers Wabuyonga, Nelson Waidhuba, Suleiman Lukwago ne Brown Balikowa era basangiddwa Poliisi nga beteekateeka kusuula misanvu mu kkubo ku […]


Poliisi mu bitundu bye Kiira ekutte abantu bataano (5) ku by’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka era kiteeberezebwa nti babadde bagyeyambisa okubba abatuuze n’okubatta mu ggoombolola y’e Budondo mu disitulikiti y’e Jinja.

Abakwatte kuliko Sharif Ngobi, Rodgers Wabuyonga, Nelson Waidhuba, Suleiman Lukwago ne Brown Balikowa era basangiddwa Poliisi nga beteekateeka kusuula misanvu mu kkubo ku kyalo kye Budondo ne Mafubira okubba abatuuze.

Okusinzira kw’amyuka adduumira Poliisi mu bitundu bye Kiira Onesmus Mwesigwa, abakwate babadde benyigira mu kubba emmotoka, okutta abavuzi ba bodaboda mu bitundu omuli Jinja, Luuka, Kamuli ne Kayunga.

Mwesigwa era agambye nti abakwate bakuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Jinja ku misango gy’obubbi n’obutemu.

Mungeri akakasiza nti waliwo n’abalala basatu (3) abakwattiddwa mu kikwekweeto, abagambibwa okulemberamu ebibinja by’ababbi omuli Anthony Ssempa, Dennis Kirunda ne Arafat Gavamukulya.