KOKOONYO! Tanasha yeekubya ekifaananyi ng’ali bwereere, akiweereza Platnumz okulaga laavu, Abatanzaniya bamutabukidde Zari akusinga empisa

©GALAXY

Abagoberezi b’omuwala Tanasha Donna Oketch ku mutimbagano gwa Instagram bamutabukidde nti talina mpisa asukkiridde obuseengu era Zari Hassan amusiinga nnyo. Tanasha asobodde okuteeka ekifaananyi ng’ali bwereere nga tayambadde kintu kyonna waggulu, kwekutegeeza nti ekiseera kye kituuse nga yesigama ku Bayibuli, “When the time is right, I the Lord, will make it happen. ~ Isiah 60:22, […]


Abagoberezi b’omuwala Tanasha Donna Oketch ku mutimbagano gwa Instagram bamutabukidde nti talina mpisa asukkiridde obuseengu era Zari Hassan amusiinga nnyo.
Tanasha asobodde okuteeka ekifaananyi ng’ali bwereere nga tayambadde kintu kyonna waggulu, kwekutegeeza nti ekiseera kye kituuse nga yesigama ku Bayibuli, “When the time is right, I the Lord, will make it happen. ~ Isiah 60:22, My instinct tells me, the time has come“.

Ebigambo bye, abamu bamutabukidde era bamulabudde okukomya okwesigama ku Bayibuli ku ngeri y’okwolesa obwereere bwe era Jama agambye nti, “Time for what!!! To be naked, that is not Isiah that is the sign of devil“.

Tanasha wadde muwala mulungi era ng’abadde asindikidde muganzi we Diamond Platnumz ekifaananyi ekyo, ebigambo by’abantu, kirabika tebamwagaliza musajja kuba bangi baali mikwano gya Zari mu kiseera ng’ali mu bufumbo kyokka ye alemedde ku mulamwa gw’okutwala Platnumz.
Mungeri y’emu abamu bamusabye okunyonyola ebigambo bye era abadde yesuunga ki?, kuwa musajja byalo, kumwanjula mu bazadde oba kumuzaalira?.