Ssaabawaabi wa Gavumenti kyaddaki agudde emisango emiggya ku basajja babiri (2) abakwatibwa ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi. Sheikh Abdu Rashid Mbazira atemera mu gy’obukulu 58 nga mutuuze we Namasengere mu ggoombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono ne munne Higenyi Aramaathan Noordin myaka 34 nga mutuuze we Mawero […]
Ssaabawaabi wa Gavumenti kyaddaki agudde emisango emiggya ku basajja babiri (2) abakwatibwa ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.
Sheikh Abdu Rashid Mbazira atemera mu gy’obukulu 58 nga mutuuze we Namasengere mu ggoombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono ne munne Higenyi Aramaathan Noordin myaka 34 nga mutuuze we Mawero EAST mu disitulikiti y’e Busia, baguddwako omusango gw’okukusa abaana.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa 2016 ne 19, March, 2017, abavunaanibwa battika abaana mukaaga (6) okubaggya mu disitulikiti y’e Busia wakati w’emyaka 3 ne 11 mu ngeri emenya amateeka era bakwekebwa mu disitulikiti y’e Mukono n’ekigendererwa eky’okubakukusa.

Omulamuzi w’eddala erisooka e Mukono Juliet Hatanga ayongezaayo omusango gwo, okutuusa 29, April, 2019 nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jonathan Muwaganya okutegeeza omulamuzi nti bakyanoonyereza era naasaba okumwongera obudde.
Abavunaanibwa bakiikiriddwa munnamateeka waabwe Anthony Wameli era okunoonyereza nga kuwedde, bakusindikibwa mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gya naggomola.
Mbazira ne Higenyi baakwatibwa mu 2017 oluvanyuma lwa Kaweesi okuttibwa nga 17, March, 2017 n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne dereeva Godfrey Mambewa nga bakubwa amasasi agabattirawo era babadde ku misango gya butemu kyokka bagattiddwako ogw’okukusa abaana.