CONGS! Zari azzeemu okukikola, ye mukyala yekka awangudde ‘Award’ esinga ekitiibwa

©GALAXY

Zari Hassan alaze nti y’omu ku bakyala abakoze buli kimu okunoonya ssente okwekumira ku mulembe. Zari mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa mu lwatu oluvanyuma lw’okwawukana ne bba Diamond Platnumz mu 2017. Ku myaka 38, mukyala muzadde, alina abaana 5 era omwaka oguwedde ogwa 2018, Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi yamuwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi […]


Zari Hassan alaze nti y’omu ku bakyala abakoze buli kimu okunoonya ssente okwekumira ku mulembe.

Zari mu kiseera kino talina musajja amanyikiddwa mu lwatu oluvanyuma lw’okwawukana ne bba Diamond Platnumz mu 2017.

Ku myaka 38, mukyala muzadde, alina abaana 5 era omwaka oguwedde ogwa 2018, Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi yamuwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi mu ggwanga lino Uganda.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti awangudde ‘Award’ nga Ambasadda w’ebyobulambuzi asinze mu mwaka wabula tekimanyiddwa abadde avuganya naani era tekimanyiddwa emikolo gyabadde wa?, “Tourism Ambassador of the year“.

Wadde abantu bangi balina ebibuuzo bingi naye ansa ntono, ffe ku 100.2 Galaxy FM tumwagaliza birungi byokka kuba y’omu ku bakyala abasobodde okolerera obulamu bwabwe mu mbeera yonna.