Kyaddaki Rema Namakula kirabika amaliridde okwawukana ne bba Eddy Kenzo kuba akooye ebigambo ate ng’omukyala alina byeyetaaga mu bulamu bwe. Okuva ku ntandikwa y’omwezi ogwa Febwali wa 2019, amawulire gabadde gayitingana nti Rema yanoba dda ewa bba Kenzo mu maka gaabwe e Seguku oluvannyuma n’apangisa amaka e Namugongo. Wabula amawulire getufunye okuva mu bitundu bye […]
Kyaddaki Rema Namakula kirabika amaliridde okwawukana ne bba Eddy Kenzo kuba akooye ebigambo ate ng’omukyala alina byeyetaaga mu bulamu bwe.
Okuva ku ntandikwa y’omwezi ogwa Febwali wa 2019, amawulire gabadde gayitingana nti Rema yanoba dda ewa bba Kenzo mu maka gaabwe e Seguku oluvannyuma n’apangisa amaka e Namugongo.
Wabula amawulire getufunye okuva mu bitundu bye Namugongo n’emikwano gya Rema egimuli ku lusegere, Rema alina amaka Namugongo n’ennyumba z’abapangisa era okuva mu maka ga Kenzo e Seguku okudda e Namugongo, tapangisa, asula mu nnyumba ze.
Mungeri y’emu bagambye nti obufumbo bwa Rema ne Kenzo buludde nga buyuuga era y’emu ku nsonga lwaki Rema yatandika dda okwekolera ebintu bye omuli okuzimba enju z’obupangisa, okufuna ssente y’ekikyala.