AUDIO! Kenzo agumizza kabite we Rema ku byogerwa abantu, mukwano balimba baagala kutwawula

©GALAXY

Omuyimbi Eddy Kenzo agumizza mukyala we Rema Namakula ku bigambibwa nti alina omukyala omulala gwategeka okudda mu bigere bye. Ku ntandikwa ya sabiti eno, waliwo ekifaananyi ekibadde kisaasaanira omukutu ogwa Face Book nga Kenzo ali n’omukyala omulala era abantu kwekutandiika okubyogera nti Kenzo alina omukyala omulala gw’afunye okudda mu bigere bya Kenzo. Wabula Kenzo bw’abadde […]


Omuyimbi Eddy Kenzo agumizza mukyala we Rema Namakula ku bigambibwa nti alina omukyala omulala gwategeka okudda mu bigere bye.

Ku ntandikwa ya sabiti eno, waliwo ekifaananyi ekibadde kisaasaanira omukutu ogwa Face Book nga Kenzo ali n’omukyala omulala era abantu kwekutandiika okubyogera nti Kenzo alina omukyala omulala gw’afunye okudda mu bigere bya Kenzo.

Kenzo n'omuwala ayogerwako
Kenzo n’omuwala ayogerwako

Wabula Kenzo bw’abadde ayogerako naffe agambye nti oyo omukyala si mukazi we wabula yamweyambisizza mu vidiyo y’oluyimba “Signal” lwe yakwattidde mu ggwanga erya South Africa mu kibuga Johannesburg.

Ebigambo bya Kenzo, kabonero akalaga nti waliwo abantu abalina ekigendererwa eky’okutabangula obufumbo bwaabwe.

Vidiyo y’oluyimba Signal