CONGS BRO! John Blaq agudde mu ssente, aweereddwa obwa Ambasadda

©GALAXY

Kkampuuni ensogozi y’ebyokunywa eya Crown Beverages Uganda ewadde omuyimbi John Kasadha amanyikiddwa nga John Blaq obwa Ambasadda bwa kampeyini empya aya “Tukonectinge with Pepsi”. Kampeyini yakumala emyezi esatu (3) era abantu balina okunywa eby’okunywa bya pepsi okuwangula ebirabo wansi wa chokolo omuli emmotoka ekika ekya Toyota Wish 24, firiigi 24, okutwala abawanguzi mu kibuga Dubai, […]


Kkampuuni ensogozi y’ebyokunywa eya Crown Beverages Uganda ewadde omuyimbi John Kasadha amanyikiddwa nga John Blaq obwa Ambasadda bwa kampeyini empya aya “Tukonectinge with Pepsi”.

Kampeyini yakumala emyezi esatu (3) era abantu balina okunywa eby’okunywa bya pepsi okuwangula ebirabo wansi wa chokolo omuli emmotoka ekika ekya Toyota Wish 24, firiigi 24, okutwala abawanguzi mu kibuga Dubai, okuwangula ssente ku Mobile Money, Airtime n’ebintu ebirala era Kampeyini yonna eteekeddwamu Biriyoni ezisukka mu 4.

Okusinzira ku ssenkulu wa Crown Beverages Paddy Muramiirah, Kampeyini eno egendereddwamu okuddiza ku bakasitoma n’okutumbula enkolagana etaggwawo.

Mungeri y’emu agambye nti mu myaka 5, kampuni ya Crown Beverages esobodde okusaasaanya biriyoni ezisukka 20 okudiza ku bakasitoma mu ngeri ezenjawulo era alina essuubi nti ku mulundi gunno John Blaq agenda kukikola bulungi nnyo okwagaza abantu okwetaba mu kampeyini empya aya “Tukonectinge with Pepsi.