Poliisi y’e Kisoro ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta ssemaka Serwumwe Jack myaka 59, omutuuze we Suma mu ggoombolola y’e Nyabwishenya mu Disitulikiti y’e Kisoro. Abakwattiddwa kuliko Hashakaimana Fred myaka 17 ne Ndayisaba Dennis myaka 18 nga bonna batuuze ku kyalo Suma. Abakwate, kigambibwa benyigidde mu kutemako omutwe gwa Ssemaka Serwumwe era omulambo gwe gwasangiddwa […]
Poliisi y’e Kisoro ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta ssemaka Serwumwe Jack myaka 59, omutuuze we Suma mu ggoombolola y’e Nyabwishenya mu Disitulikiti y’e Kisoro.
Abakwattiddwa kuliko Hashakaimana Fred myaka 17 ne Ndayisaba Dennis myaka 18 nga bonna batuuze ku kyalo Suma.
Abakwate, kigambibwa benyigidde mu kutemako omutwe gwa Ssemaka Serwumwe era omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi mu musiri gwa muwogo ku kyalo ekyo ekya Suma.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omu ku batuuze Sebagenzi John agamba nti essimu eyasangiddwa mu kifo Ssemaka Serwumwe we bamuttidde, abadde yagiguza omu ku bakwate.
Maate agamba nti essimu esobodde okubayamba okukwata abantu babiri (2) era bonna bakiriza okwenyigira mu ttemu era Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula lwaki ssemaka Serwumwe yattiddwa mu bukambwe.