KIWEDDE! Katikkiro Mayiga alabudde Bobi Wine ne banne ku ky’obukulembeze, abantu ba Kabaka abakubye akaama mu kulonda kwa 2021

©GALAXY

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu okulonda abakulembeze abalimu ensa mu bulamu bwabwe. Munnamateeka Mayiga bwe yabadde mu mukolo gwa mazaalibwa ga Kabaka ag’e 64 olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga mu Bulemeezi ku ssomero lya Ndejje SSS, yagambye nti abavubuka bangi besowoddewo okwagala obukulembeze kyokka abalonzi balina okulondoola n’okulonda abavubuka abakuziddwa obulungi, “ennaku zino […]


Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu okulonda abakulembeze abalimu ensa mu bulamu bwabwe.

Munnamateeka Mayiga bwe yabadde mu mukolo gwa mazaalibwa ga Kabaka ag’e 64 olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga mu Bulemeezi ku ssomero lya Ndejje SSS, yagambye nti abavubuka bangi besowoddewo okwagala obukulembeze kyokka abalonzi balina okulondoola n’okulonda abavubuka abakuziddwa obulungi, “ennaku zino abavubuka baagala kutwala bukulembeze naye abavubuka abagwanidde okutwala obukulembeze balina okubeeramu ensa nga bakuzibwa bulungi“.

Charles Peter Mayiga
Charles Peter Mayiga

Wakati nga Katikkiro ayogera ebigambo ebyo, abantu bangi bawuliddwako nga bagamba, “People Power, Bobi Wine, People Power, Bobi Wine”, ekiraga nti 2021 betegefu okumuwa obululu ku kifo ky’omukulembeze bw’eggwanga lino kuba yalangirira dda okwesimbawo.

Ebigambo bya munnamateeka Mayiga kabonero akalaga nti wadde abavubuka baagala bukulembeze, omuntu yekka gwe balina okulonda, alina okubaamu ensa mu ngeri ezenjawulo omuli okuwa Obwakabaka ekitiibwa.