KAWEDDEMU! Poliisi ekutte 3 ku by’okubba ebyuma bya masanyalaze e Kiryandogo

©GALAXY

Poliisi ekutte abantu basatu (3) ku by’okubba ebyuma by’amasanyalaze era mu kiseera kino bakuumibwa ku Poliisi ya Kampala mukadde. Abakwate baggiddwa mu Kisenyi mu kikwekweeto kya Poliisi era basangiddwa n’ebyuma ebyenjawulo. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, bafunye alipoota okuva mu bitundu bye Kiryandogo nti waliwo abantu abakulembeddemu okubba ebyuma by’amasanyalaze […]


Poliisi ekutte abantu basatu (3) ku by’okubba ebyuma by’amasanyalaze era mu kiseera kino bakuumibwa ku Poliisi ya Kampala mukadde.

Abakwate baggiddwa mu Kisenyi mu kikwekweeto kya Poliisi era basangiddwa n’ebyuma ebyenjawulo.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, bafunye alipoota okuva mu bitundu bye Kiryandogo nti waliwo abantu abakulembeddemu okubba ebyuma by’amasanyalaze mu kitundu kyabwe nga bali ku mmotoka ne badduuka okwolekera Kampala.

Owoyesigyire agamba nti kiteeberezebwa nti ebyuma byabiddwa ku Karuma era okunoonyereza kutandiise.