Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda Muzeeyi John Luswata Mulumba Taata wa Nnabagereka Sylivia Nnaginda. Obwakabaka butaddewo akakiiko ak’enjawulo nga kakulirwa Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Haji Prof. Twaha Kaawaase okwatagana ne Famire y’omugenzi mu ntekateeka z’okuziika. Munnamateeka Mayiga agamba nti omugenzi Luswata aludde ng’atawanyizibwa omutima n’ekirwadde ky’ensigo era ajjanjabiddwako mu mawanga agenjawulo […]
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda Muzeeyi John Luswata Mulumba Taata wa Nnabagereka Sylivia Nnaginda.

Obwakabaka butaddewo akakiiko ak’enjawulo nga kakulirwa Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Haji Prof. Twaha Kaawaase okwatagana ne Famire y’omugenzi mu ntekateeka z’okuziika.

Munnamateeka Mayiga agamba nti omugenzi Luswata aludde ng’atawanyizibwa omutima n’ekirwadde ky’ensigo era ajjanjabiddwako mu mawanga agenjawulo omuli e Buyindi era abadde akulungudde ebbanga erisukka mwezi gumu mu ddwaaliro e Mulago erijjanjaba abalwadde b’emitima.
Mungeri y’emu agambye nti olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 15, April, 2019, baakusabira omwoyo gw’omugenzi mu Lutikko e Namirembe ku ssaawa 4 ate ku Lwokubiri ku ssaawa 10, omugenzi aziikibwa e Nkumba era ku ssaawa 7 wakusookawo okusabira omwoyo gw’omugenzi.