Poliisi mu Kampala ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta omuntu. Abakwattiddwa kuliko Henry Kalanzi ne Nicholas Kirumira ku by’okutta Bright Musisi myaka 25. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire abakwate benyigidde mu kulwana nga bali mu bbaala ya Wine Bar e Makindye, ekyavuddeko Musisi okubwa nasigala ng’ali mu mbeera embi era […]
Poliisi mu Kampala ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta omuntu.
Abakwattiddwa kuliko Henry Kalanzi ne Nicholas Kirumira ku by’okutta Bright Musisi myaka 25.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire abakwate benyigidde mu kulwana nga bali mu bbaala ya Wine Bar e Makindye, ekyavuddeko Musisi okubwa nasigala ng’ali mu mbeera embi era kiteberezebwa yakubwa ekyupa ku mutwe.

Musisi yafudde nga bakamutuusa mu kalwaliro ka Malcom mu bitundu bye Kibuye.
Owoyesigyire agamba nti abakwattiddwa basangiddwa mu bitundu bye Makindye-Kironde Zone ku misango gy’obutemu era Poliisi etandiise okunoonyereza bonna ababadde mu kikolwa ekyo.
Abakwate bali ku Poliisi y’e Katwe.