Kyaddaki omuyimbi Daxx Kartel afunye omukyala omutuufu asukkulumye ku balala mu nsonga z’omu Kisenge era essaawa yonna agenda kutongoza obufumbo bwe. Momo 19 omukozi ku BBS TV kati ye mukyala wa Daxx Kartel era agamba nti babadde baagalana emyaka egisukka mwe 5. Momo 19 agamba nti wadde yali tayagala muyimbi, Daxx Kartel yamuwangula omutima kuba […]
Kyaddaki omuyimbi Daxx Kartel afunye omukyala omutuufu asukkulumye ku balala mu nsonga z’omu Kisenge era essaawa yonna agenda kutongoza obufumbo bwe.
Momo 19 omukozi ku BBS TV kati ye mukyala wa Daxx Kartel era agamba nti babadde baagalana emyaka egisukka mwe 5.

Momo 19 agamba nti wadde yali tayagala muyimbi, Daxx Kartel yamuwangula omutima kuba musajja mulungi nnyo, alina empisa era asinga abantu bangi nnyo mu ggwanga lino.
Mungeri y’emu agambye nti wadde Daxx Kartel y’omu ku bayimbi abalinya ku siteegi ng’ayambadde mu ngeri esasamaza, ye musajja we kuba musajja muyimbi era alina okwolesa ekitone kye.
Daxx Kartel amanyikiddwa nnyo mu kisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli bbaala, abawuulu, Nambooze n’endala.