Omuyimbi Sheebah Kalungi awadde bannayuganda amagezi ku ngeri gye balina okweyisaamu mu bulamu bwa buligyo. Sheebah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti, tolina kuwa muntu kitiibwa atakikuwa, “Never Respect Anybody That Has No Respect For You“. Ebigambo bwa Sheebah, kabonero akalaga nti tayinza kuwa muyimbi munne Cindy Sanyu kitiibwa kuba naye amuyisaamu amaaso. […]
Omuyimbi Sheebah Kalungi awadde bannayuganda amagezi ku ngeri gye balina okweyisaamu mu bulamu bwa buligyo.
Sheebah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti, tolina kuwa muntu kitiibwa atakikuwa, “Never Respect Anybody That Has No Respect For You“.
Ebigambo bwa Sheebah, kabonero akalaga nti tayinza kuwa muyimbi munne Cindy Sanyu kitiibwa kuba naye amuyisaamu amaaso.
Cindy okusaba Sheebah ‘battle’ ku siteegi emu, kyavaako obutakaanya wakati waabwe era Sheebah agamba nti tayinza kuwa ‘Battle’ muyimbi yenna nga tamuwa kitiibwa.
Ate Cindy agamba nti Sheebah muyimbi wa ‘CD’, tasobola kuyimba ‘LIVE’ ku siteegi era alina okukiriza nti alina obuzibu okusobola okuyiga.
Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki bombi beweereza ebigambo.