Omuyimbi Eddy Kenzo ayanukudde okusaba kw’omuyimbi Awilo Longomba, abayimbi abakuze mu kisaawe ky’okuyimba okuyambako okutumbula n’okutunda talenti z’abayimbi abato. Kinnajjukirwa nti Awilo bwe yabadde ku Serena Hotero mu Kampala omwezi oguwedde, yagambye nti Uganda erina abayimbi nga bamanyikiddwa mu nsi yonna (International) omuli Kenzo, Jose Chameleone n’abalala era balina okuyambako okutumbula talenti mu Uganda. Mu […]
Omuyimbi Eddy Kenzo ayanukudde okusaba kw’omuyimbi Awilo Longomba, abayimbi abakuze mu kisaawe ky’okuyimba okuyambako okutumbula n’okutunda talenti z’abayimbi abato.
Kinnajjukirwa nti Awilo bwe yabadde ku Serena Hotero mu Kampala omwezi oguwedde, yagambye nti Uganda erina abayimbi nga bamanyikiddwa mu nsi yonna (International) omuli Kenzo, Jose Chameleone n’abalala era balina okuyambako okutumbula talenti mu Uganda.
Mu mbeera eyo, Kenzo atandikiddewo okwanukula omulanga gwa Awilo era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okutekayo vidiyo ng’ali n’omuyimbi DT Timo nga banyumirwa oluyimba Bango.
Mu Uganda, Kenzo y’omu ku bayimbi abalina abagoberezi abangi ku mitimbagano omuli Face Book ne Instagram era singa ateeka omuyimbi yenna ku mitimbagano gwe, kiraga nti alina omutima gwa zzaabu mu kutumbula talenti y’abayimbi abato.
https://www.instagram.com/p/BwQKOyFjs8i/