MC Kats awadde omuyimbi Fille Mutoni obwesigwa nti alina okumuwagira okutuusa okufa. MC Kats okuvaayo, kidiridde Fille okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza musajja gwayise Eddy okumukwasizaako mu kisaawe ky’okuyimba okumala emyaka 6, “Thank You EDDY!! 6YEARS of FILLEMUSIC Today”. Abamu ku bantu bagamba nti Fille abadde ategeeza bba Katamba Edwin amanyikiddwa nga MC Kats kuba […]
MC Kats awadde omuyimbi Fille Mutoni obwesigwa nti alina okumuwagira okutuusa okufa.
MC Kats okuvaayo, kidiridde Fille okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza musajja gwayise Eddy okumukwasizaako mu kisaawe ky’okuyimba okumala emyaka 6, “Thank You EDDY!! 6YEARS of FILLEMUSIC Today”.

Abamu ku bantu bagamba nti Fille abadde ategeeza bba Katamba Edwin amanyikiddwa nga MC Kats kuba omwana waabwe ye Abby.
Wabula MC Kats asobodde okweyambisa omukutu gwe gumu ogwa Instagram okuwa Fille obweyamu nti akyali muwagizi we okutuusa okufa, “Never stop keep going sky is e limit fan for life“.
MC Kats ne Fille bafunamu obutakaanya ng’abaagalana ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018 era mu kiseera kino buli omu abeera yekka.
Fille agamba nti MC Kats akyali mukwano gwe ate taata w’amwana we, ekiraga nti ali ku mutima gwe mu mbeera yonna wadde mu kiseera kino bayawukana.