Kyaddaki abalamuzi ba kkooti ensukulumu, bawagidde okusalawo kwa kkooti ya ssemateeka eyatuula e Mbale nti okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga, tewali tteeka lyonna lyamenyebwa. Ku balamuzi omusanvu (7), bana (4) bawagidde eky’okukyusa akawayiro 102B, ate basatu (3) bakisimbidde ekkuuli. Ku balamuzi abawagidde kubaddeko Ssaabalamuzi Bart Magunda Katureebe, Jotham Tumwesigye, Stella Arachi Amoko ne Rubby […]
Kyaddaki abalamuzi ba kkooti ensukulumu, bawagidde okusalawo kwa kkooti ya ssemateeka eyatuula e Mbale nti okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga, tewali tteeka lyonna lyamenyebwa.
Ku balamuzi omusanvu (7), bana (4) bawagidde eky’okukyusa akawayiro 102B, ate basatu (3) bakisimbidde ekkuuli.
Ku balamuzi abawagidde kubaddeko Ssaabalamuzi Bart Magunda Katureebe, Jotham Tumwesigye, Stella Arachi Amoko ne Rubby Apio Aweri ate omulamuzi Eldard Mwangusha, Lillian Tibatemwa ne Paul Mugamba ebyayisibwa babisazizamu.
Okusalawo kw’abalamuzi kuwa ebbeetu, ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2021.
Embeera ebadde mu kkooti, abamu ku bajjulira okubadde munnamateeka Male Mabirizi, ababaka ba Palamenti abawakanya okugikwatako nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Ssalongo Erias Lukwago n’abamu okuva ku ludda oluvuganya balabiddwako nga bonna baweddemu amaanyi.
Banno kubaddeko omubaka Gerald Karuhanga, Ssemujju Nganda, Allan Ssewanyana, Odonga Otto, Winnie Kiiza, Betty Nambooze, Robert Kyagulanyi Ssentamu, Pulezidenti wa Democratic Party (DP) Norbert Mao benyamidde olw’abalamuzi okutunda eggwanga lyabwe.